Jeremiah 13

1Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda ogule olukoba olwa linena olwesibe mu kiwato kyo, naye tolunnyikanga mu mazzi.” 2Bwe ntyo ne neegulira olukoba, nga Mukama bwe yandagira, ne ndwesiba mu kiwato kyange.

3Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira omulundi ogwokubiri 4nti, “Ddira olukoba lwe wagula lwe weesibye mu kiwato kyo ogende ku mabbali g’omugga Fulaati olukweke eyo mu lwatika lw’olwazi.” 5 aBwe ntyo ne ŋŋenda ne ndukweka ku mabbali g’omugga Fulaati nga Mukama bwe yandagira.

6Ennaku nnyingi nga ziyiseewo, ate Mukama nandagira nti, “Genda kaakano ku Fulaati oleete olukoba lwe nakulagira okukwekayo.” 7Awo ne ndyoka ŋŋenda ku mugga Fulaati, ne nsimulayo olukoba ne nduggya mu kifo we nnali ndukwese. Naye laba, olukoba lwali lwonoonese, nga terukyalina kye lugasa.

8Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti, 9 b“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe ntyo bwe ndikkakkanya okwegulumiza kwa Yuda ne Yerusaalemi. 10 cAbantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bw’emitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n’okubasinza, bajja kuba ng’olukoba olwo olutaliiko kye lugasa. 11 dNg’olukoba bwe lunywerera mu kiwato ky’omuntu, bwe ntyo bwe nzija okwagala ennyumba ya Isirayiri yonna n’eya Yuda zinneesibeko,’ bw’ayogera Mukama, ‘balyoke babeere abantu bange, bagulumize erinnya lyange n’ettendo; naye bo ne batawulira.’ ”

Olugero lw’Ekita

12“Bagambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo?’ 13 eOlwo olyoke obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Laba nditamiiza abantu bonna abatuula mu nsi eno, ne bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka, ne bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi. 14 fEra buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ”

Amalala n’Okuswazibwa kwa Yerusaalemi

15Wuliriza ontegere okutu;
toba na malala,
Mukama y’akyogedde.
16 g Mukama Katonda wo
mugulumize nga tannaleeta kizikiza,
nga ebigere byo tebinneesittala ku nsozi
ezikutte ekizikiza.
Musuubira ekitangaala,
naye ajja okukifuulamu ekisiikirize eky’okufa
akikyuse kibe ekizikiza ekikutte ennyo.
17 hNaye bwe mutaafeeyo,
emmeeme yange eneekaabira mu kyama
olw’amalala gammwe;
amaaso gange gajja kukaaba nnyo nnyini
gakulukuse amaziga
era ekisibo kya Mukama kijja kuwambibwa.

18Gamba kabaka era ne namasole nti,
“Mukke muve ku ntebe zammwe ez’obwakabaka,
kubanga engule zammwe ez’ebitiibwa
zijja kugwa okuva ku mitwe gyammwe.”
19 iEbibuga by’e Negebu biggaddwawo,
tewali n’omu anaabiggulawo;
Yuda yonna yaakutwalibwa mu buwaŋŋanguse,
yonna yaakutwalibwa.

20 jMuyimuse amaaso gammwe
mulabe abo abava mu bukiikakkono.
Kiruwa ekisibo ekyabaweebwa,
endiga ezaabeeyinuzanga?
21 kMuligamba mutya Mukama
bw’alibawaayo okufugibwa abo be mwali mutwala nga ab’omukago?
Temulirumwa
ng’omukazi alumwa okuzaala?
22 lEra bwe weebuuza nti,
“Lwaki kino kintuseeko?”
Olw’ebibi byo ebingi
engoye zo kyezivudde ziyuzibwa,
era omubiri gwo ne gubonerezebwa.
23Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw’omubiri gwe
oba engo okukyusa amabala gaayo?
Bwe mutyo bwe mutasobola kukola birungi,
mmwe abaamanyiira okukola ebibi.

24 m“Ndibasaasaanya ng’ebisusunku
ebifuuyibwa empewo eva mu ddungu.
25 nGuno gwe mugabo gwo
gwe nakupimira,” bw’ayogera Mukama,
“kubanga wanneerabira
ne weesiga bakatonda ab’obulimba.
26 oNze kennyini ndibikkula engoye zammwe ne nzibikka ku mitwe gyammwe,
obwereere bwammwe ne bulabika.
27 pNdabye obwenzi bwammwe
n’obwamalaaya bwe mukoze.
Ndabye ebikolwa byo eby’ekivve ku busozi
era ne mu nnimiro.
Zikusanze ggwe, ayi Yerusaalemi!
Olituusa ddi obutaba mulongoofu?”
Copyright information for LugEEEE